
Akakiiko akatekeddwaawo Obwakabaka bwa Buganda okukola ku kuziika omutaka Nelson Ssebugwawo kafulumiza enteekateeka.
Okusinzira ku mwogezi wa Buganda, omubiri gw’omugenzi gwakujjibwa mu ddwaliro e Mulago ku lw’okuna luno gutwalibwa mu kkanisa ya St Lukka e Nkumba gusabirwe n’oluvanyuma gutwalibwa mu maka ge.
Ku lunaku lw’okutaano omugenzi wakuddamu okusabirwa mu maka ge ate oluvanyuma aziikibwe ku saawa 8 e Nkumba.
Omutaka Ssebuggwwo yafa ku Sande ku myaka 104 era nga y’abadde Jajja wa Maama Nabagereaka Sylivia Nagginda.