Ebyobulamu
Obulwadde bwa Hepatitis B
Palamenti eyisizza ekiteeso ekisaba nti gavumenti ebeeko ky’ekolera omuwendo gw’abantu abalina obulwadde bwa Hepatitis B mu ggwanga ogweyongedde.
Obulwadde buno bukwata kibumba era nga busenkenya mpola omuntu okutuusa lw’afa.
Ekiteeso ekikola okusaba kuno kireeteddwa omubaka omukyala owe Kyenjojo, Linda Timbigamba agambye nti obulwadde buno businga n’obwa mukenenya okubeera obw’obulabe kyokka nga tebufiiriddwaako
Ono agamba nti gavumenti esaanye okutandika okugema abantu okulaba nti obulwadde buno butangirwa
Ono era ayagala gavumenti esseewo enkola ennambulukufu ku bulwadde buno n’engeri gyebukwatibwaamu.
Gavumente Kati ewereddwa emyezi esatu okuba ng’etegeezezza ababaka ku wa w’etuuse.