Amawulire
Pulezidenti Museveni akuutidde abavubuka
Omukulembeze w’egwanga Yoweri Museveni asabye abaana b’amasomero okwewala ebikolwa eby’obukaba nga bakyali bato.
Museveni agamba nti ebikolwa bino biviirideko abaana okufuna embuto nga bakyali bato wamu n’okukwatibwa siriimu ekibavirako okuva mu masomero.
Museveni agambye nti abaana balina okweyisa obulungi, olwo basobole okutangaza ebiseera byabwe eby’omumaaso.
Okunonyereza okwakolebwa ekitongole kya National HIV Prevention Strategy kulaga nti ebikolwa eby’obukaba naddala mu bavubuka byebisinze okusasanya akawuka ka sirimu.