Bya Moses Ndaye, Ekitongole ekitereka ensimbi zabakozi mu gwanga ki National social security Fund kitadewo ebifo abakyala abakozi webayonseza abaana baabwe
Akulira ekitongole kino Richard Byarugaba agamba nti ekifo kino kyakuyambako bamaama okuyonsa abaana baabwe nga baze nabo ku mirimu
Ono agamba nti kino kyakuyamba abaana bano okufuna amata agalimu ekiliisa okusobola okubeera abalamu obulungi.
Abakugu bagamba nti bamaama abazadde balina kuyonseza emyezi 6 omwana asobole okufuna ekiliisa ekimuyambako okukula nga tatawanyizidwa ndwadde.
Byarugaba asabye ebitongole ebirala nabyo okukola bwebityo