
Okuwanika enkalala z’abalonzi kukomekkerezeddwa.
Abamu ku bajjibwa mu nkalala beebatali bannayuganda, abaafa, abataweza myaka 18 kko n’abo abali ku nkalala omulundi ogusukka mu gumu.
Kati amannya gonna aganaaba gasongeddwaako gakuwanikibwa ku nkalala okumala ennaku 11 okwongera okwetegerezebwa olwo gasangulwe mu butongole.
Omwogezi w’akakiiko akalondesa Jotham Taremwa agambye nti kino kyakutandika okukolebwa nga 14 okutuuka nga 22 omwezi guno n’asaba abantu okwetegereza amannya agosongeddwaako.
Taremwa agambye nti omulimu gutambudde bulungi tebasanze bugulumo kubanga abantu babadde bamanyi eky’okukola.