Skip to content Skip to footer

Bobi Wine alabudde abakuuma ddembe

Bya Prossy Kisakye, Omubaka wa Kyadondo East mu palamenti Robert Kyagulanyi aka Bobi Wine asabye abakuuma ddembe obutakkiriza kukozesebwa pulezidenti kubanga waliwo essaawa eyokwanukulira buli kyebakoze.

Kyagulanyi okwogera bino nga mu sabiiti ewedde eggwanga lya America lyaganye eyali ssabapoliisi w’eggwanga lino Gen Kale Kayihura ne famile ye okudamu okugenda munsi yaabwe oluvanyuma lwokutegezeeza nti Kayihura mu biseera weyaberera mu kifo kye yatyoboola eddembe ly’obuntu.

Kyagulanyi ngayita ku mikutu gye egya social media asabye bannauganda naddala abali mu bukulembeze abatulugunya abantu okwedako kubanga baleme kubeera nga Kayihura eyakkiriza okukozesebwa ensombi ate oluvanyuma nnaasuulibwa.

Ono agamba nti bannauganda bonna basanye balabire ku byamutuuseeko baleme kubonerezebwa nga batuuse mu bukulembeze.

Leave a comment

0.0/5