Skip to content Skip to footer

Omukazi asse bbaawe

BYA FELIX AINEBYOONA

Poliisi mu district ye Mbarara eriko omukazi nakampaate gwegalidde owemyaka 28 nga kigambibwa nti yakidde bbaawe namutta.

Okuysinziira ku mwogezi wa poliisi ki kitundu kya Rwizi Samson Kasasira, omukwate ye Faridah Nakayuwa Grace, ngabadde mukyala wa Abel Gava.

Bano baafunye oluyombo ku ntandikwa yomwezi guno nga 1 Novemba, omukazi najjayo ekyambe atematema omusajja okutuusa lweyasizza ogwenkomerero.

Kasasira agambye nti omulambo gwomusajja baagusanze mu kitaba kyomusaayi, nga gujudde ebiwundu.

Poliisi era egamba nti ekiso kyeyakozesezza bakijje mu kabuyonjo, mweyabadde kisudde.

Leave a comment

0.0/5