Bya Abubaker Kirunda
Entiisa ebutikidde abatuuze ku mwalo gwe Nairobi ku kyalo Nakalyango, mu gombolola ye Malongo omuvubuka owemyaka 18, bwagudde mu Nyanja Nalubaale nafa.
Omugenzi ye Julius Pamba ngabadde mutuuze mu kitundu kino, wabula okugwa mu Nyanja kigamabibwa nti abadde anaaba.
Ono ye muntu owokusatu okugwa mu Nyanja Nalubaale, mu bbanga erya wiiki emu.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, James Mubi alabudde abatuuze abali mbalama ze nyanbja nti batekeddwa okwegendereza.