Bya Prossy Kisakye,
Ekelezia katolika eyogedde ku mugenzi eyali omusumba we ssaza lye Masaka eyawumula, John Baptist Kaggwa, ngómusajja abadde akyókulabirako mu kubulira enjiri ya kristu songa abadde ayagala nyo e mirembe.
Omusumba kaggwa yassa omukka ogwenkomerero ku lunaku olwokusatu olwa ssabiiti eno era nga yafa kirwadde kya covid-19.
Bwabadde mu kusabira omwoyo gwómugenzi wali ku lutiko e Lubaga, ssabasumba we ssaza ekkulu erya Kampala, Dr Cyprian Kizito Lwanga, agambye nti ekelezia ne ggwanga lyonna bifiiriddwa nyo omuntu atali genda kuzikawo nga abadde mulwanirizi wa abo abanyigirizibwa
Dr Lwanga asaasidde omusumba serevoros Jjumba Owe ssaza lya Masaka aliko okuvirwako omusomesawe.
Ku ssawa 11 ezakawungeezi ka leero Omubiri gwomugenzi gwakutwalibwa ku lutiko e Kitovu Masaka abakkiriza bagukubeko eliiso evanyuma ate olunaku lwenkya gugalamizibwe e Bukalasa mu Masaka District ku ssaawa 8.
Omusumba Kaggwa yazaalibwa ngennaku zomwezi 23 March 1943 e Bulenga, mu ssaza lye Busiro yegatta ku seminale ye Kisubi mu 1958.
Mu 1970, Kaggwa yayawulibwa okubeera omusumba mu kibuga Roma ate 1998, yatuuzibwa ku busumba bwe ssaza lye Masaka okusikira omugenzi Adrian Kivumbi Ddungu
Mu 2019, omusumba Kaggwa yawumula emirimu gye kisumba era nasikizibwa omusumba aliko kati Severus Jjumba.