Bya Prossy Kisakye,
Abasuubuzi bómu katale ka St Balikuddembe baweereddwa amagezi okusigala nga bakakamu ku kyokutekesa ekiragiro kya pulezidenti ekyokulonda obukulembeze obugya.
Omwaka oguwedde omuk weggwanga Museveni yalagira minisita wa Kampala Betty Amongi, okusatulula obukulembeze bwóbutale ne Lufula obukadde obupya bulondebwe
Ekiragiro kya Musevenkyadirira abasuubuzi okumulajanira nti basolozebwamu ensimbi mpitirivu ekibavirako okufiirizibwa
Wabula mu kwogerako ne bannamawulire omubaka wa gavt atwala ekibuga Kampala, Hudu Hussein, agambye nti ekitongole kya Kampala Capital City Authority kyatekawo akakiiko kekiseera okulondoola ebikolebwa mu katale kuba baali tebasobola kutegeka kulonda nga wakyaliwo bannabyabufuzi abagala okweyambisa embeera yokulonda mu katale kano bakole akavuyo mu kibuga
Kati agambye nti okulonda kwakubaawo oluvanyuma lwomukulembeze weggwanga okulayira