Bya Benjamin Jumbe,
Omukulembeze weggwanga Museveni azeemu nategezeza nga gavt bweri emmalirivu okulwanyisa ekibba ttaka mu ggwanga.
Kino kidiridde okwemulugunya okukolebwa Haji Edirisa Sedunga bwabadde ayogerera ku mukolo ogwokukuza olunaku lwa bazira wali e Kololo.
Museveni agambye nti alonze minisita we byettaka omugya Judith Nabakooba era nga mukakafu nti agyakola bulungi
Ono asabye na bakulembeze be ddiiini okuyambako gavt ku kulwanyisa ekibba ttaka ekikosa abantu abanaku
Mungeri yemu pulezidenti ategezeza nga bwewatali muntu yenna agenda kutabangula gwanga, ngayita mu lutalo.
Agambye nti tewakyali bwetaavu bwalutalo mu Uganda ngagambye nti bingi ebikyuse era bannaUganda balonda bulungi abakulembeze baabwe bebagala.
Alabudde nti anagezaako okutabangula Uganda bajja kumuwangula.