Skip to content Skip to footer

Omupoliisi akwatiddwa kweyambisa motoka ya kitongole mu bukyamu

Bya Juliet Nalwooga

Ate omusirikale wa poliisi as Sgt Christopher Opio, agombedwamu obwala lwakufuula motoka ya poliisi esabaza abantu.

Kino kidiridde akatambi ka video okuyitingana ku mikutu egyomutimbagano nga kalaga omusirikale ono nga attika abasabaze nga abagyako ne nsimbi.

Ku lwokutano lwa ssabiti gye tufundikidde omukulembeze weggwanga Museveni yalangirira omuggalo okwetoloola eggwanga lyonna nawera ne byentambula okwewala okusasaana kwekirwadde

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga atubuulidde nti omumenyi wa mateeka ono yagyemedde ne kiragiro kya poliisi nti emotoka zino zirina kusigala ku bitebe

Kati omusirkale ono aguddwako emisango 3 omuli n’okugyemera ebiragiro byomukulembeze weggwanga

Leave a comment

0.0/5