Skip to content Skip to footer

Akakiiko kasalawo leero ku by’okusisinkana Kadaaga.

Bya Samuel Ssebuliba.

Akakiiko ka Parliament akakwasisa empisa olwaleero kagenda kutuula kategeke kyekazaako wakati mu kunonyereza ku nkayana eziri wakati wa sipiika Rebecca Kadaga ne minister  omubeezi ow’ebyetaka Persis Namuganza.

Sabiiti ewedde minister Namuganza y’alabikako mu kakiiko kano n’alumiriza speaker okweyingiza mu nsonga z’ekitundu ky’atwala ekya Bukono , nga kwogasse n’okumulimiriira okumulemesa obukulembeze bw’ekitundukye.

Akakiiko kano kaasalawo  okusisinkana abakulu okuli eyali omubaka wa Soroti Municipality Mike Mukula, minister  Idah Nantaba , ko ne sipiika  Kadaga yenyini.

Twogedeko n’amyuka ssentebe w’akakiiko kano Abbas Agaba, n’agamba nti  ensisinkano  ya leero egenda  kubayamba okwekubamu tooki, mungeri yeemu basalewo ddi lwebalina okusisinkana sipiika.

 

Leave a comment

0.0/5