Bya Samuel Ssebuliba.
Abasuubuzi b’omu Kampala abegattira mu kibiina kyabwe ekya KACITA bakyakalambidde nga bagamba nti bakwekalakaasa nga April 10th , singa government teveeyi kukola ku nsona zaabwe ezibasiiwa.
Kinajukirwa nti sabiiti ewedde ssabaminister we gwanga Dr Ruhakana Rugunda yakaanya okukola ku nsonga z’abano, okuli ebeeyi y’amasanyalaze, eb’ekitongole ekiwooza ababakwata nga ab’atujju, nga kwogasse n’eteeke erigenda okulambika enkolagana y’abapangisa ne landlord lyebagamba lirudde.
Kati twogedeko n’omwogezi wa Kaciita Issa Ssekitto, nagamba nti nakakano tebanalaba kwanukula kwonna, kale nga bbo tebagenda kwetuulako olwanga 10 bwerutuuka nga ensonga zaabwe tezinakolwako, okwekalakasa okw’emirembe kwakutandika