Amawulire
Okusabira Mandela, Abanene boogedde
Enkumi n’enkumi z’abantu beebegasse ku bannansi ba South Africa okusbaira omwoyo gw’omugenzi Nelson Mandela
Bano babadde mu kisaawe kya FNB mu kibuga Johannesburg.
Okusaba kuno kwekumu ku mikolo egyakasinga okukungaanya abakulembeze mu myaka gino.
Nelson Mandela yafa ku lunaku lw’okusatu olwa ssabiiti ewedde ng’aweza emyaka 95
Eggwanga lya South Africa lyataddewo ebikujjuko ebitali bimu okukuza okufa kw’eyali omukulembeze ‘weggwanga waalyo Nelson Mandela
Omu ku mikwano gya Mandela nfanfe era nga bamusiba naye Andrew Mlangeni agambye nti Mandel ayassaawo essuubi awatali yadde.
Abakulembeze abatali bamu okuli, owa Amerika, Barrack Obama, ssabawandiisi ‘wekibiina ky’amawanaga magatte Ban Ki Moon n’owa Cuba Raul Castro beebamu ku boogedde ku mukolo
Ne bazzukulu ba Mandela basatu boogeddeko eri nasiisi w’omuntu akuunganidde ku mikolo gy’okusabira omugenzi
Yye omukulembeze w’ggwanga lya South Africa, Jacob Zuma Mandela amwogeddeko ng’musajja omugumu, enjasabiggu atasobola kwerabirwa