Amawulire
Uganda eyimirizza abalambuzi abomunda mu gwanga
Bya Benjamin Jumbe
Gavumenti ya Uganda erangiridde nti bayimirizza obulambuzi obwomunda mu gwanga, mu kiseera kino ekyomuggalo gwa ssenyiga omukambwe.
Kino kirangiriddwa minisitule yebyentambula oluvanyuma lwokuddamu okwekennenya ebiragiro mubyentambula.
Bweyabadde ayogera ne bannamauwlire mu Kampala, kamisona mu minisitule eno Winston Katushabe yagambye nti emmotoka zokka ezirina layisinsi wansi wa kampuni zebyobulambuzi zezikirizibwa okutambuza abalambuzi aba bweru.
Kati dereva nomugayidi wabalambuzi, batekeddwa okubeera nebiwandiiko ebyava mu kubakebera ssenyiga omukambwe mu ssaawa 48 emabega nga biraga balamu.
Kamisona Katushabe yagambye nti okumenya ebiragiro bino kiyinza okuvirako okusazaamu stiika ezabawereddwa.