Amawulire

Okwewa amabanga mu migotteko kukyali kusomozebwa

Ivan Ssenabulya

June 25th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abakugu mu byobulamu e Kampala bagamba nti okuteeka mu nkola ebiragiro ku kirwadde kya ssenyiga omukambwe oba Standard Operating Procedures kukyali kusomozebwa mu migotteko.

Dr. Mariam Mulungi Nantambi, omulondoozi webyobulamu ku divizoni ye Rubaga agambye nti abantu bangi mu migotteko bawangaliira mu buzigo era bwebalwala, tebasobola kweyawula nga bwekitekeddwa okubeera.

Wabula agambye nti abantu mu migotteko waddenga abalwala naye obulwadde ssi bwamaanyi.

Ono abadde ku NTV nga bakubaganya ebirowoozo kungeri yokutangiramu ssenyiga omukambwe mu kibuga.

Bino webijidde ngabeterekero lyeddagala, olwaleero batandise okubunyisa eddagala erigema COVID-19 doozi emitwalo 5 mu 7,000 mu Kampala.

Okugema e Kampala kugenda kuddamu ku Bbalaza wiiki ejja.