Bya Juliet Nalwooga
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Tanyadel mu disitulikiti ye Moroto, abalwanyi aba-Karamaja bwebalumbye ekitundu nebakuba amasasi mu bantu nebatta aomulenzi owemyaka 6 nebakuliita nente 1000.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kyamaserengeta ga Karamoja Michael Longole agambye nti ababbi bente bano basse Korobe Apangoria nga waliwo nabantu abalala 3 abalumiziddwa okuli Lolem Loguti, Lochap Paul ne Loit Longortipa.
Longole agambye nti abasatu bano banyiga biwundu mu ddwaliro ekkulu e Moroto wabula okunonyereza kugenda mu maaso.
Kati agambye nti poliisi ekwataganye namagye ge gwanga okuyigga ababbi bente bano.