Amawulire

Kyagulanyi ayaniriza okusalawo kwa Kkooti mu musango gwómuggalo

Kyagulanyi ayaniriza okusalawo kwa Kkooti mu musango gwómuggalo

Ivan Ssenabulya

July 3rd, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye

Akulira ekibiina kye byobufuzi ki National Unity Platform party, Robert Kyagulanyi, ayaniriza ensalawo ya kkooti eya ssemateeka olunaku lweggulo bweyalangiridde nti ekyokuwozesa omuntu wa bulijjo mu kkooti ye kinnamaggye kikyamu.

Kino kidiridde eyali omubaka wa Nakawa Municipaali mu lukiiko lweggwanga olukulu, Micheal Kabaziguruka okudukira mu kkooti mu mwaka gwa 2016 nga awakanya ekyokuwozesa omuntu wa bulijjo mu kkooti za maggye.

Mu kiwandiiko kyafulumiza Kyagulanyi, agambye nti bannakibiina kye bangi abavundira mu makomera oluvanyuma lwokukwatibwa mu kwekalakaasa okwennaku ebiri okwetoloola eggwanga lyonna okwaliwo omwaka gwa 2019 nga abawagizibe bawakanya okukwatibwakwe mu bitundu bye Luuka, songa ne mu kulonda okuwedde bangi bakwatibwa ne basindikibwa mu kkooti ya maggye eyabasindika mu kabula muliro, songa sibasirikale.

Bobiwine agamba nti yadde nga okusalawo kuno kuludewo naye kabonero ka buwanguzi era asabye gavt obutagezako kuwakanya kusalawo kuno mu kkooti ensukulumu.