Bya Ruth Anderah,
Omulamuzi wa kkooti enkulu Wilberforce Wamala atadewo ennaku zómwezi nga July 23rd 2021 okusalawo ku musango munnamateka Hassan Male Mabirizi gweyatwala mu kkooti nga awakanya ekya pulezidenti Museveni okulangirira omuggalo.
Kino kidiridde omulamuzi okugaana okusaba kwa Martin Mwambutsya, okuva mu yafeesi ya ssabawolereza wa gavt nga ayagala bongerweyo akadde basobole okutegeka okwewozaako kwabwe.
Kati omulamuzi alagidde gavt okuwaayo okwewozaako kwabwe ngolwokuna lwa ssabiiti ejja terunayita.
Ku lwokusatu lwa ssabiiti eno omulamuzi Wamala yayisiza ekiwandiiko ekiraga nti omusango gwa mabirizi gulina okutunulwamu mu bwangu ddala
Mabirizi ayagala kkooti erangirire nti omuggalo ogwalangirirwa gavt guliwo mu bumenyi bwa mateeka ne gugibwewo