Bya Prossy Kisakye, Ekibiina kya American tower cooperation (ATC) kikubye enkata abavubuka abawangalira mu bitundu bya kampala mukadde bwe kibazimbidde ebanguliro lye bikwata ku techologia baleme kulekebwa mabega n’omulembe.
Mu kutongoza etendekere lino wali ku muzikiti gwa gadaffi mu kampala akulira ekibiina kino Hussein Kitonsa asabye gavumenti okwongera ensimbi mu minisitule ye byamawulire ne technologia esobole okwongera amaanyi mu ntekateeka eyokubunyisa enjiri yomugenda gwo kweyambisa ebyuma bikali magezi.
Ekifo kino ekiwemmense doola zamarica nga 1000 kyakubangula abavubuka mu byuma bikali magezi ku bweerere noluvanyuma babawe satifikeeti
Kitonsa alaze obwetaavu obwokuteeka amaanyi mu kutumbula enkola eya technologia uganda esobole okubeera mu lubu lumu nga amawanga amalala
Ono asabye abasiyiraamu okweyambisa obulungi ettendekero lino basobole okuganyulwamu.