Amawulire

Gavt esabiddwa okuteerawo abasawo ekifo ekyénjawulo ekirabirira bannabwe abafunye ekirwadde

Gavt esabiddwa okuteerawo abasawo ekifo ekyénjawulo ekirabirira bannabwe abafunye ekirwadde

Ivan Ssenabulya

July 5th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye

Gavumenti esabiddwa okusosowaza ekyokulongoosa embeera abasawo abali ku mwanjo mu kulwanyisa ekirwadde kya covid-19 gye bakoleramu mu kaseera kano ngeggwanga liri mu muyaga ogwokubiri ogwekirwadde kino.

Mukwogerako ne bannamawulire mu Kampala Aggrey Sanya, ssabawandiisi wékibiina ki Uganda Medical Workers Union (UMWU) agambye nti bukya kirwadde kibalukawo mu ggwanga abasawo bakolera mu mbeera enzibu ate nga tebafiiridwako kimala.

Wano wasabidde gavumenti okutekawo ekifo ekyenjawulo awajanjabirwa abasawo abafunye ekirwadde nga bali ku mirimu nga bwekiri mu ggwanga lya Kenya.

Sanya era asabye gavt okutekawo ensimbi ezenjawulo eri abasawo bonna abakolera mu kiseera kino ekizibu nga kwogase okubawa ebikozesebwa okwerinda okirwadde kino.