Amawulire

Ebyobufuzi n’ensimbi ezitamala byebisinze okukosa Disitulikiti

Ali Mivule

December 12th, 2013

No comments

road works

Disitulikiti  okuli Gulu, Wakiso, Mpigi, Amuru ne  Jinja z’ezimu ku zisinga okutambuza obulungi emirimu gyazo ku mutendera gwa gavumenti ez’ezebitundu.

Bino bifulumidde mu alipoota mu kunonyereza okwakoleddwa ab’ekibiina ekinonyereza ku by’enkulakulana n’obutonde bw’ensi ekya ACODE  era nekizuula nga district ya Agago bwekwebedde mu mpereza y’emirimu.

Ate ku mutendera gw’enkiiko z’ebibuga , Wakiso ne Gulu ze zisinga.

Ate bwekituuse ku ba ssentebe  Richard Rwabuhinja owe Kabarole, Salam Musumba owe  Kamuli, Matia Bwanika owe Wakiso ne  Fredrick Gume owe Jinja bebamu ku banokoddwayo nga abakola obulungi emirimu gyabwe.

Akulira okunonyereza mu kibiina kino Lilian Tamale ategezezza nga bwebasinzidde ku mpeereza y’emirimu, ensonga ezanjibwa saako n’okubalirira ensimbi nga bakola alipoota eno.