Amawulire
Ensimbi zómuggalo zakugabwa ku bbalaza
Bya Damali Mukhaye,
Gavumenti eyongezayo ennaku ezókufunirako ensimbi zómuggalo emitwalo ekumi zeyasuubiza eri buli maka agakosebwa embeera eyomuggalo.
Kati ensimbi zakufuluma ssabiiti ejja ku lunaku lwebbalaza.
Bwabadde alabiseko eri akakiiko ka palamenti akatekebwawo mu kulondoola engeri gavt gye kutemu ensonga zékirwadde kya covid-19, minisita omubeezi owekikula kya bantu,Charles Engola ategezeza ababaka nti beetaagayo ssabiiti nnamba okwetegereza enkalala za balina okufuna kunsimbi zino, kale nga ebyókufulumya ensimbi olunaku lwenkya tebisoboka.
Ono agambye nti nómulimu kwokukunganya enkala za balina okufuna ensimbi gutambudde kasoobo
Wabula akakasiza nti wetunatukira ssabiiti ejja bajakuba byonna babimaliriza ensimbi zitandike okusindikibwa ku masimu.
Olunaku lweggulo minisita owekikula kya bantu Betty Amongi, yabadde aggumiza bannauganda nti ekibinja ekisooka ekyabagenda okufuna ensimbi zino zakubatukako olunaku lwenkya
Wabula ababaka ba palamenti benyamidde olwenkyukyuka eno kubba bannakibuga bangi bakyamukiridde dda balinze nsimbi zirume ku masimu gabwe.