Amawulire

Gavt eragiddwa yewozeeko mu bwangu ku musango gwókwongeza ebisale bya balwadde ba covid

Gavt eragiddwa yewozeeko mu bwangu ku musango gwókwongeza ebisale bya balwadde ba covid

Ivan Ssenabulya

July 8th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kooti enkulu mu Kampala eragidde gavumenti ne minisita w’eby’obulamu Dr Jane Ruth Aceng bateekeyo okwewozaako kwabwe, mu musango gwebabawawabira, olwokulemererwa okulungamya ebisale by’obujanjabi bwa ssenyiga omukambwe.

Kino batekeddwa okukikola olunnaku lwenkya nga 9 July 2021.

Ekiragiro kino kiyisiddwa omulamuzi Phillip Odoki oluvanyuma lwabawaaba omusango guno aba Health Equity and Policy Initiative (HEAPI) okutegeeza omulamuzi nti ensonga eno yetaaga okukwatibwa n’obwegendereza.

Mu mpaaba yaabwe bawawabira minisita Dr Jane Ruth Aceng ne ssabawolereza wa gavumenti.

Bano bawakanya ebisale ebiri waggulu naddala mu malwaliro agóbwannanyini, ebigibwa ku bantu abalina ekirwadde songa yadde nga tebawonede mu malwaliro gano era balemera emirambo ne bakanda abenganda zomugenzi sente.