Bya Ivan Ssenabulya
Omulamuzi w’eddala erisooka e Mukono Mariam Nalugya
Ssemwanga, aliko omusajja gwasindise ku alimanda mu kkomera e Luzira, ku misango gya butemu.
Jimmy Magosa owemyaka 30 nga mutuuze ku
kyalo Ngandu mu munispaali ye Mukono nga mugoba wa bodaboda kigambibwa nti yenyigira mu kutta Salim Muwanga 35, omutuuze we Kitega Mukono, eyali alwanyisa envuba embi.
Oludda oluwaabi lutegezezza ngomuvuannwa omusango bweyaguzza nga 30/3/2019 ku kyalo Nangwa mu gombolola ye
Nakisunga, bwebatta omugenzi ne ttima.
Kigambibwa nti omgenzi ne banne baali bakutte omuvubi akakukusa obwenyanja obuto, naye nabasubiza ssente era baali bagenda azibawe, ate gwebakutte natandika okukuba enduulu nti babbi.
Wano abatuuze olwajja batandikirawo okukuba omugenzi nebamutta waddenga yali abalaze ebbaluwa ezimwogerwako, nti alwnyisa nvuba mbi.
Kati waakudda mu kooti nga 27omwezi guno alabe okunonyereza wekunaaba kutuuse.