Bya Magembe Sabiiti
Abatuuze ku kyalo Nabutiti mu gombolola ye Bukuya e Kassanda baliko omusajja wa myaka 48 gwebakubye emiggo egimusse nga bamuteberezza okubba kasooli.
Atiddwa ategerekese nga ye Wamaggali Noah omutuuze ku kyalo Nabutiti nga abatuuze okuva mu mbeera nebamutta bamaze kumusanga nga aliko kasooli omukalu gwabadde abbye okuva eri mutuuze munabwe.
Omwogezi wa police atwala Wamala Region Ochom Nobert alabudde abantu okukomya okutwalira amateeka mu ngalo era nategeeza nga abenyigidde mu kikolwa kino bwebajja okubakwata bavunanibwe omusango gw’okutta omuntu.