Amawulire
Emiwendo gyabalwadde ba COVID-19 Gyongedde okukendeera
Bya Ivan Ssenabulya
Emiwendo gyabalwadde ba ssenyiga omukambwe abappya, gyongedde okukendeera wakati mu muggalo ogwe nnaku 42 ogwalangirirrwa omukulembeze we’gwanga nga 18 June.
Olwaleero minisitule yebyobulamu eranagiridde abalwadde abappya 479 nabafudde 25, nga baavudde mu kwekebejje kwebakola nga 10 July 2021.
Wabaddewo okudirira mu bibalo, bwogerageranya ku balwadde abappya 522 abalwangiriddwa olunnaku lweggulo okuva mu kukebera okwaliwo nga 9 June.
Ebibalo ebyawamu okuva ssenyiga omukambwe lweyayingira egwanga omwaka oguwedde biyimiridde ku bantu emitwalo 8 mu 7,756 atenga abakafa baweze 2,129.
Bbo abantu abalwadde, abali mu malwaliro, minisitule egamba nti beyongeddeko okuva ku 996 okudda ku 987 okwetoloola egwanga.
Bbo abantu emitwalo 6 mu 1,304 bebakawona COVID-19.