Skip to content Skip to footer

Banamateeka bakolokose ebigambo bya Bamugemereirwe.

Bya Ruth Anderah.

Oluvanyuma lwa ssentebe w’akakiiko akanonyereza ku by’etaka okuvoola ensala ya kooti ku misango gy’ebyetaka, bbo banamateeka ab’enjawulo bavumiridde ebyayogeddwa munaabwe.

Kinajukirwa nti sentebbe w’akakiiko kano era nga naye mulamuzi Catherine Bamugemereire, yavumiridde abalamuzi, n’e nnamula yaabwe gyeyayise ey’omunguuba , naddala bwebatuuka n’osalawo nti abantu bagobwe kutaka nga tebamaze nakutuuka ku taka ely’ogerwako.

Kati bano nga bakulembedwamu munamateeka Musoke Peter bagamba nti akakiiko kano tekalina buyinza buvumirira balamuzi, wadde okuyingirira ensalawo ya kkooti ku misango egy’ekuusa ku ttaka.

Bano bagamba nti ekitongole ekiramuzi tekiwebwa nsimbi zimala okusobola okunonyereze ku misango gino so nga ate akakiiko kawebwa ensimbi ezibula n’okusinga ku zabalamuzi.

 

Leave a comment

0.0/5