Bya Samuel Ssebuliba.
Omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi kyadaali asazeewo okukyusa ekivvulu kya kyarenga naakiteeka ku beach ye aya One love beach e Busabala mukifo kya Namboole gyaludde ebanga nga ayagala okukiteeka.
Kinajukirwa nti emirndi ebiri nga ekivulu kino ekyalina okubeera e Namboole nga kisazibwamu, nga n’ogwasembayo ekibiina ekidukanya omupiira ekya Fufa kyawandiikira abe Namboole nga kibagaana okukiriza ekivulu kino.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire wano e Kamwokya, Kyagulanyi agambye nti okusinziira ku mbeera eriwo alabye nga kyamakulu okuteeka ekivulu kino awantu awatali nkayana, era nga police amaze okugitegeeza ku nsonga eno.