Amawulire
PLE Afuluma lunnaku lwankya
Bya Damalie Mukhaye
Ekitongole kyebigezo mu gwanga, Uganda national examination board bakakasizza nti ebigezo bya PLE bigenda kufuluma olunnaku lwenkya.
Wabula kikanyiziddwako nti abakulu bamasomero tebajja kuweebwa mpapula mu buliwo, kubanga kinaaba kyabulabe era kyandivaako okusasana kwa ssenyiga omukambwe.
Minisita webyenjigiriza nemizannyo Janet Kataha yajja okufulumya ebigezo bino, ngasinziira mu maka gobwa pulezidenti e Entebbe.
Omwogezi wekitongole kya UNEB Jenipher Kalule agambye nti alizaati zaakutekebwa ku mutimbagano gwekitongole, abakulu bamasomero kwebajja okuzijja.
Zzo empapula mu buliwo zaakubaweebwa oluvanyuma, ngobukulembeze bwazi disitulikiti, munisipaali nobukulembeze bwebitundu obulala baakutegezebwa ddi lwebanakima empapaula.
Omugatte abayizi emitwalo 74 mu 9, 761 bebatuula ebigezo byekyomusanvu ebya 2020, ngebigezo bino baabikolera mu bifo omutwalo 1 mu 4,300.