Amawulire
Okukungubagira Njuba, abadde mumanyi
Amalaboozi agakungubagira abadde sentebe wa FDC mu ggwanga gakyajja
Sam Njuba yafudde olunaku lwajjo mu ddwaliro lye Nsambya gyeyaddusibwa ng’alumwa olubuto.
Njuba abadde munnamateeka omugundiivu kyokka ng’era munnabyabufuzi kayingo.
Omu ku gwebalwana naye mu lutalo l’wamenunula e Luweero, Alhajji Abdul Nadduli agamba nti Njuba yakola nnyo kuleeta emirembe mu ggwanga
Nadduli agambye nti Njuba yakola nyo okuleeta eby’okulwanyisa okuva mu ggwanga lya Libya mu mwaka gwa 1981.
Nadduli agambye nti wadde nga Njuba yasala eddiro neyegatta ku FDC tasaana kwerabirwa.
Yyo gavumenti agamba nti eddibu lya Njuba terijja kuba lyangu kuzzaawo.
Minista akola ku by’amawulire, Rose Mary Namayanja agamba nti Njuba abadde musajja mumanyi
Njuba ono nno abadde munnamateeka mugundiivu era nga yakulemberako n’ekibiina ekigatta bannamateeka mu mwaka gwa 1978
Kati amyuka akulira ekibiina kino mu kadde kano, Ernest Kalibbala agamba nti Njuba alwnairidde nnyo eddembe ly’abantu era nga eggwnaga lyakumusubwa
Bbo ab’ekibiina kya kya DP bagamba nti Njuba ku mateeka, eggwnaga lyakumusubwa
Ssabawandiisi w’ekibiina kino Mathias Nsubuga amwogeddeko ng’omusajja omwagaazi w’emirembe.
Enteekateeka z’okuziika omugenzi tujja kuba nga tuzikutegeeza akadde konna
Omwoyo gw’omugenzi omukama agulamuzise kisa