Amawulire
Okuwuliriza abayizi abakwatirwa ebigezo kutandika lwankya
Bya Damalie Mukhaye
Ekitongole kyebigezo mu gwanga, Uganda National Examination Board okutandika nolunnaku lwenkya bagenda kutandika okuwuliriza ensonga zabayizi 3,612 webigezo byabwe ebyakwatibwa.
Uneba yakwata ebigezo 2,220 kubya PLE, baakwata ebigezo 1,292 kubya UCE oba S4 nebakwata nebigezo 100 kubya UACE oba ebya S6.
Ssabawandiisi wekitongole kyebigezo Dan Odongo akaksizza nti okuddamu okwetegereza ebigezo ebakwatibwa nokuwuliriza abamu ku bayizi, kugenda kutandika nga 2 Sebutemba.
Agambye nti bebanasanga nga tebalina musango, ebigezo byabwe baakubifulumya.