Skip to content Skip to footer

Alipoota ku bwegugungo bwa Novemba ebotoddwa

Bya Daily Monitor

Okunonyereza okwakolebwa ebitongole ebikuuma ddembe, ku kitta bantu ekyaliwo nga 18 nenkeera waalwo nga 19 Novemba, omwaka oguwedde 2020 kulaze nti abantu 11 bebatibwa nga bekalakaasa, atenga abalala 42 bakaubibwa amasasai mu butanwa.

Bino biri mu alaipoota eyanga 5 Decemba 2020 wabulanga ekontana nebyo ebyayogerwa omukulemeze we’gwanga Yoweri K. Museveni.

Museveni nga 29 Novemba 2020, yasinziira ku TV nategeeza ngabantu 32, ku batibwa bwebaali bekalakaasa.

Alaipoota eno yakolebwa amyuka Ssabapoliisi we’gwanga Grace Akullo, akaulira ebyokunonyereza mu poliisi, nomudumizi wamagye ge gwanga Gen David Muhoozi.

Alipoota eraga nti abantu 54 bafiira mu bifo ebyenjawulo, mu bunyalagano obwaliwo bwa mirundi 49.

Abantu 11 baali bekalakaasa, 42 bakubibw amasasai mu butanwa, nga baali tebekelakaasa, omuntu 1 yatomerwa mmotoka namba UAW 827/N eyawaba okuva ku luguudo, oluvanyuma lwabekalakaasi okukuba omugoba waayo ejinja ku Ben Kiwanuka mu Kampala.

Okwongera okutemateema alipoota eno, abantu 45 baali basajja, 6 bakazi atenga, abantu 3 ku baafa baali baana bato.

Kati ebisingawo ku alipoota eno, biri mu lupapula lwa Daily Monitor wolwaleero.

 

Leave a comment

0.0/5