Skip to content Skip to footer

Omuvubuka asobezza ku mwanyina namutta, naye nebamutta

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi mu disitulikiti ye Rakai etandise okunonyereza ku musajja owemyaka 41, agambibwa okukakana ku mwanyina owemyaka 11 namusobyako, oluvanyuma namugwa mu bulago namutuga namutta.

Omwogezi wa poliisi mu ttundutundu eryobwagagavu bwa Masaka Muhammad Nsubuga, agambye nti maama wabaana bano bombi yeyaloopye omusango ku poliisi.

Bino byabadde ku kyalo Kitonezi mu muluka gwe Kasensero gombolola ye Lwanda.

Wabula kitegezeddwa nti omusajja ono abadde mwana wa mukazi mulala.

Omugenzi ye Agnes Nanyonga, ngabadde asoma kibiina kya P5 ku ssomero lya Kayayumbe P/S wabula kisubirwa mwanyina eyamusobezaako namutta, abadde nobulemu ku mutwe.

Yahaya Muwonge kigambibw anti yateeze kato ke, nakasobyako bweyalabye nti kamutegedde kwekusalako okukatuga nakatta.

Wabula nabatuuze bamutaddeko omuyiggo, nebamusanga ngageZaako okwetuga nebamukuba naye nebamutta.

Nsubuga agambye nti emirmbo bajijeeyo nebajitwala mu gwanika lyeddwaliro e Rakai ngokunonyereza kugenda mu maaso.

Leave a comment

0.0/5