Bya Abubaker Kirunda
Poliisi mu disitulikiti ye Mayuge etandise omuyiggo ku mukazi, agambibwa nti okusuula omwana we omuwere, gweyakazaala mu kabuyoinjo.
Omukazi ono, nakampaate mutuuze ku kyalo Busuyi mu gombolola ye Wairasa nga kigambibwa nti yabadde azadde omwana wabulenzi.
Ssentebbe we’kyalo awabadde bino, John Mulyalya agambye nti waliwo omutuuze eyawulidde omwana ono ngakaabira mu kabuyonjo nababagulizaako.
Basimye kabuyonjo nebamujjamu ngakyali mulamu, nebamuddusa mu ddwaliromlyabaana erya Jinja Nalufenya Children hospital kankano gyafunira obujanjabi.
Yyo poliisi etegezezza nga bwebatandise omuyiggo ku mukazi eyakoze kino.