Bya Juliet Nalwooga
Poliisi eyisizza enambika y’entambula yebidduka, egenda okugoberera wakati wanga 17 ne 20 May, 2021 ngababaka ba palamnti abapya balayira.
Omuddumizi wa poliisi mu Kampala nemirirwano Norman Musinga wabula agambye nti abanytu abakozesa oluguudo lwa Kampala-Jinja tebagenda kukosebwa, okujjako enguudo ezebbali ezirinanyewo.
Agambye nti oluguudo lwa Parliamentary Avenue lwakusalwako ku Kimathi Avenue, King George VI Street, Siadi Barrie neku nkulungo ya UBC.
Ababaka ba palamenti abppya, abagenda okulayira okukiika mu palameti eymulundi ogwe 11 bakutuuka ku palamenti okuyita ku King George bayingirire mu wankaaki oba Main Gate.
Mmotoka zaabwe zaku-parkinga ku National Theatre.
Kati mmtoka endala ezitagenda ku mukolo guno, zisabiddwa okwewala Kimathi Avenue, Parliamentary Avenue, Siadi Barrie n’oluguudo lwa Dewinton Road.
Musinga alabudde nti teri akirizibwa kuparkinga mmotoka okumpi ne palamenti, era mmotoka zebansangawo baakuzisika, bazitwale ku CPS kubanga zijja kuba zitataganya entekateeka yaabwe.