
Abantu abasoba mu 700 beebazze ku butaka mu Kenya oluvanyuma lw’okusuulawo ebibiina ebirwanyi mu ggwanga lya Somalia.
Wabula waliwo okutya nti abantu bano bandifuuka ekizibu singa tebayambibwa mu ngeri y’okubudabuudibwa
Kigambibwa okuba nti aba Alshabab bali mu kuwandiisa bantu mu ggwanga lya Kenya nga kiyinza okuba nga kyekitengudde bano okuleka ebibiina mwebabadde okusobola okuyingira obutujju..
Kenya erumbiddwa emirundi bingi abatujju ba Alshabaab ng’omwaka guno abantu 148 beebakattibwa