Bya Ndaye Moses
poliisi etandise okugobagana nabavubuka, abatandise okwokya ebipiira mu nguudo mu bitundu byekibuga ebyenjawulo, nga babanja nti gavumenti ereke Bobi Wine ayimbe nokukola ebivvulu.
Bino biri mu bitundu byekibuga ebyenjawulo, ngabavubuka bookya ebipiira mu nguudo, ekisanyalaza ebyentambula.
Omusasi waffe Moses Ndaye atubuliidde nti batandikidde Katwe nga kati bali Kamwokya.
Yye omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano, Luke Oweyesigyire atugambye nti embeeraeno ebali mu ttaano, bakujizza mu nteeko.