Bya Kato Joseph
Poliisi etandise okunonyereza ku mukuumi agambibwa okwekuba amasasi wali e Bukoto mu division ye Nakawa mu Kampala.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Luke Owoyesigyire, akaksizza nti bagala okuzuula obanga Charles Okene, yekubye obanga waliwo amukubye amasasi ku mutwe.
Omugenzi abadde akuuma ne mukwano gwe Atlantis Elegance apartment ku plot 3 Kimera close e Ntinda.
Ono era abadde mukozi mu kitongole kya Rock Security services.
Owoyesigyire agambye nti bagenda kukunya munne bwebabadde bakola, mu kunonyererza okutandise.
Omugenzi yekubye essasi mu bulago nerifubutukirayo mu mutwe, bweryabizza akwanga, nge nekigendererwa tekinakaksibwa.