Bya Sadat Mbogo
Abantu 5 balumiziddwa webajiddwayo nga babyoalyola okubaddusa mu ddwaliro, oluvanyuma lwakabenje akagudde ku kyalo Kanaani mu Town Council ye Buwama ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka wali mu district ye Mpigi.
Okusinziira ku mudumiz wa poliisi yebidduka e Buwama, Richard Wabwire, omugoba wa trailer namba T593 AWF/T185 CEK emuremeredde neyevulungula, netomera Prado namba UAY 758/G nyomusenyu UBC 704/B.
Abasimattuse akabenje kano babadusizza mu ddwaliro Nkozi wabulanaga abamu aamgulu gamenyese.
Mmotoka zonna 3 ezetabye mu kabenje kano zitwaliddwa ku poliisi e Buwama ngokunonyereza kugenda mu maaso.