Bya Ivan Ssenabulya
Ekisaawe kyokuyimba, kyetaaga amateeka agenkomeredde aganalungamya emirmu, okwewala obukubagano wakati wabayimbi, abategesi bebivvulu nabobuyinza.
Okusaba kuno kukoleddwa Andrew Benon Kibuuka president presidenti wabayimbi, ngagamba nti gavumenti erabika eremereddwa nnyo ku nsonga eno.
Agamba kati basaaba bekolerere amateeka ngabali mu mulimu guno aganagobererwa.
Bino webijidde ngekivvulu kya Bobi Wine ekyabadde kirina okubaawo olunnaku olwe ggulo e Busabala kyaganiddwa.