Skip to content Skip to footer

UCC eyimirizza pulogulaamu ya Spark TV-Koona

Bya Kyeyune Moses

Ekitongole ekivunayizibwa ku biwerezebwa ku mpewo, Uganda Communications Commissions olwaleero kirangiridde nga bwekiyimirizza pulogoram ya Spark TV eya “Koona” eya Miles Rwamiti, olwobutagoberera mateeka agomutindo gwebiwerezebwa ku mpewo.

Okusinziira ku ssenkulu wa UCC Godfrey Mutabaazi bano bawereddwa ennaku 10 okwenyonyolako, oba ssi ekyo bakujijjako ku mpewo ne producers ne presenter waako.

Mu kino UCC esinzidde ku pulogulaamu gyebakola nga December 21st 2018, mwebakyaliza omubaka wa Rubaga south Paul Kato Lubwama nabategesi bebibivvulu, omwali oluyombo nga bagamba nti bayolesa omutindo ogwa wansi ebitagambika.

Omukutu gwa Spartka era gusabiddwa okuvaayo namakubo aganayitwamu okwewala, embeera eyaliwo obutaddamu.

Leave a comment

0.0/5