Bya Kato Joseph
Poliisi etandise okunonyererza ku muliro nabbambula, ogukutte ennyumba yomukadde owemyaka 75 e Kasangati ogutwaliddemu nobulamu bwe.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Luke Owoyesigyire, akaksizza okufa kwa Joyce Nakiwala, omutuuze we Kyambogo-Masoli, mu district ye Wakiso.
Agambye nti basubira omuliro gwavudde ssigiri, eyalekeddwa ngeyaka.
Omulambo gutwaliddwa mugwanika e Mulago okwongera okwekebejjebwa, wabula poliisi nerabula abantu okwegendererza iobubenje bwomuliro mu biseera bino.