Amangu ddala nga okulangirira kuwedde ssabalamuzi Bert Katurebe ategeezeza nti Government egwanga etandikirewo okudamu okwekeneenya amateeka g’ebyokulonda, kubanga buli mwaka gwokulonda kino kizze kyogerwako
Ono ategeezeza nti akakakiko ke byokulonda konna keetaga kakyusibwe, kasobole okufuna ekifananyi ekigya mu bantu
Ono mungeri yeemu ayogedde kungeri omukulemebeze abeera afuga mukade ako gyakozesaamu ensimbi za government okunoonya ate akalulu, kale nga kino kyetaga kitekebweko ekomo elyembagirawo.
Kakano kitegerekese nti kooti eno egenda kudda nga wayise enaku 90 okuwa ensalayaayo eyenkomeredde, kko nensona enyinyonyole obulungi lwaki bagobye omusango guno.