Olunaku olwaleero nate kooti ensukulumu ezeemu nekaatiriza ebyafaayo, bwetegeezza nga bwetalaba nsonga mumusango ogwawabwa Amama Mbabazi nga awakanya ebyava mukulonda kwaliwo nga 18
Abalamuzi bonna omwenda bakaanyiza nti kituufu Candidate Museveni yalondebwa mu butuufu bwetyo n’egobera dala omusango guno.
Bwabade awa ensalaye ,ssabalamuzi wa Uganda Bart Katureebe ategezezza nti yadde nga okulonda kwalimu ebilumira ebitonotono ,bino tebiyinza kwesigamwako kusazaamu buwanguzi wa pulezidenti Museveni.
Agambye nti yadde obululu obumu bwali tebunabalibwa, pulezidenti Museveni yali amaze okufuna ebitundu 50% byeyali yetaaga okulangirirwa ku buwanguz,i kale nga akakiiko k’ebyokulonda kamulangirira mu butuufu.
Kati twogedeko ne munamateeka wa Mbabazi Asuman Basalirwa natubuulira ebikulu ebibadde mumusango guno.