Amawulire
Gavumenti etiddemu olwa bizineensi ezigalawo
Bya Ndhaye Moses
Gavumenti eraze okutya kungeri amakampuni gyegatandise okuggalawo, nga kiva ku bizbu byebasanze mu kukola obusubizi.
Minisita webysnimbi Matia Kasaijja agambye nti wewaawo waliwo okusomozebwa naye absiga nsimbi tebasaanye kubugutana, kubanga embeera egenda kuterera gyebujja mu maaso.
Asubizza nti ebyenfuna byonna byakuggulwawo, abantu baddemu okukola era emirimu gitojjere.
Yasinzidde ku mukolo ogwokutongoza olukiiko olwa booda olupya olwekitavvu kyabakozi ekya NSSF.
Ayogedde ku kampuni yebyempuliziganya eya Africell Uganda Ltd nga kigambibwa nti bagenda kuggalawo.
Bano babadde bakoledde mu Uganda emyaka egiri mu 7, nga gwemukutu ogubadde gutunuliirwa ngogwokusatu mu byempulizganya byamasimu.