Skip to content Skip to footer

Ssentebe awonye okugajambulwa lwa kizindaalo

Public address system

Amyuka wa Ssentebe wa district ye Mukono Musa Kigundu awonedde watono okugajambulwa abatuuze b’okukyalo Kyetume mu gombolola ye Nakisunga  lwakizindaalo ki mukalakaasa.

Abakungu bano okugwa ku kyokya,  babadde mu lukiiko lwe kyalo oluyitidwa okugonjoola enkayaana ezibaddewo ku kizindaalo kino wakati wa nanyinikyo  , n’ eyaliko kansala  we kitundu kino  Babra Nalubwama.

Olukiiko  lutandise bulungi   era abatuuze abasinga nebalaga  obwetaavu bwe kizindaalo kino, naye   ekibajje mu mbeera, ye mumyuka wa Ssentebe  Kigundu  abadde awa ensalaye ku nsonga eno  okutegeeza nga bw’ayimiriza mbagirawo okubulira enjiri ku kizindaalo kino okujjako ebirango byoka.

Abatuuze ababadde b’etimbye ebipande  ebivumirira abataagala njiri, kwekumwambalira  era neyezooba nabo okumala akaseera ,  okutuusa ab’ebyokwerinda bwe bamutaasiza  n’asobola okwemulula  mpola.

Leave a comment

0.0/5