Amawulire
Aba FDC bagala wateekebwewo okunonyereza okwómuggundo ku bulumbaganyi bwa boomu
Bya prossy Kisakye,
Ekibiina kye byóbufuzi ekya Forum for Democratic Change kisabye gavumenti okufunayo kampuni egwira enonyereze era eveeyo ne alipoota ekwata ku boomu ezigambibwa okuba nti zitegebwa batujju mu ggwanga lino.
Gye buvudeko abantu bana bafiira mu bulumbaganyi bwa boomu ezategebwa mu kitundu kye komamboga ne mpigi, ate abalala ne basimatuka ne bisago ebyamaanyi.
Abatujju Islamic state bavaayo ne besoma nti beebakuba Uganda ewaluma yadde nga poliisi ya wano bino yabisambajja bweyategeeza nti tewali bukakafu bulaga nti bebatega boomu zino.
Kati omwogezi wa FDC Ibrahim Ssemuju Nganda, asabye gavt obutatwala nsonga eno ngeyolubalaato wabula batekeko abakugu banonyereze bazuule ekituufu ate bamanye butya bwebayinza okuziyiza kino obutadamu kubaawo.