Amawulire
Abayizi ba Yunivaasite abatali bageme bagaaniddwa okutandika emisomo
Bya Abubaker Kirunda ne Damali Mukhaye,
Amatendekero gakyagenda mu maaso nokulemesa abayizi abatali bageme okuva eri ekirwadde kya Covid okuyingira ku masomero wakati mu kuggulawo olunaku olwaleero.
E Jinja, ettabi lya Kampala university eriri eyo nalyo ligaanye abayizi abatali bageme kuyingira
Okusinzira kwákulira university eno, Richard Kaberuka, bataddewo tenti okwekebejja abo abageme na batali bageme.
Omusasi waffe Abubaker Kirunda, atubuulidde nti abayizi bangi bakonkomalidde ku mulyango abatali bageme oluvanyuma lwokugaanibwa okuyingira.
Ne wano mu kampala abayizi ba kyambogo na bamakerere university abatali bageme balemesebwa okuyingira newankubadde okusoma kutandise.